Ebyokuwozesa bannakibiina kya NUP 11 abali mu nkomyo ku misango gy’obutujju bizeemu omukoosi, ekitongole kya Ssaabawaabi wémisango gya government bwekikyusizza omuwaabi abadde akola ku musango guno.
Mu mwezi gwa June 2023, kkooti ento e Nabweru yalagira omuwaabi wa government Sarah Namubiru okudda leeri mu kkooti okuwa ensonga erobera okugobwa kw’omusango guno.
Kinajjukirwa bannamateeka bábantu bano okuli Shamim Malende ne Luyimbaazi Nalukoola baali baasaba omusango guno gugobwe, olw’omuwaabi wa government okwekuniza natawaayo byali bituukiddwako mu kunoonyerez
Kooti egenze okuddamu okuwulira omusango, kitegerekese nti omuwaabi wa government eyagulimu nga yasikisiddwa omulala,naye kwekusabayo ekiseera yetegereze ensonga eziri mu ddiiro, ekiwalirizza omulamuzi sarah Namusobya okwongezaayo omusango guno okutuusa nga 18th omwezi guno ogwa July.
Munnamateeka w’abawawabirwa Luyimbazi Nalukola agambye nti ekikoleddwa kugezaako kukuumira bantu babwe mu nkomyo ekiseera ekiwanvu, nti kubanga obujulizi obubaluma tewali.
Abantu bano 11 bakwatibwa mu may 2023 mu bitundu bye Kawempe, Nabweru ne Nansana nebaggulwako omusango gwobutujju.
Kigambibwa nti nga 7th May 2023 baasangibwa ne bbomu enkolerere nébyokulwanyisa ebirala ebimenya amateeka.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam