Abawagizi ba ttiimu y’omupiira ogw’ebigere ey’e Bungereza eya Liverpool banna Uganda abegattira mu kibiina kyabwe ekya KOP-UG badduukiridde amaka g’abaana abatalina mwasirizi aga Nazareth Orphanage home mu Nnyendo mu kibuga Masaka.
Babawadde obuyambi bw’ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo n’okutongoza omulimu gw’okuzimba kaabuyonjo ey’omulembe.
KOP-UG the Official Liverpool Supporters mu Uganda baakulembeddwamu Jenina Babirye Edith omukwanaganya w’ebyempuliziganya mu kibiina kino, bagambye nti tebakoma bukomi ku kyakuwagira mupiira naye era bagattako n’okuyamba ku bantu abeetaaga okubeerwa, wamu n’okukuuma obutonde bw’ensi naddala nga bettanira okusimba emiti.
Ekifo kino ekya Nazareth Orphanage home kyatandikibwawo Sr. Nambooze Nazareth mu 1980 ku musigi gwa Eklezia, okuyamba ku baana abasuulwa n’abatalina mwasirizi nabo beeyagalire mu bulamu ng’abaana abalala.
Addukanya ekifo kino, Andrew Ssessambwe, yeebazizza nnyo abawagizi ba Liverpool mu Uganda olw’omutima omulungi n’obuyambi bwebabawadde, nágamba nti newankubadde bayambibwako abazira kisa, bakyalina okusoomoozebwa naddala ku bisale by’essomero ku baana abamu abatalina bavujjirizi, okusoomoozebwa mu byóbujjanjabi n’ebirala.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achilleo K.