Abawereeza ba program ya Kaliisoliiso ku Cbs fm 88.8 baweereddwa engule olw`okukola program esinga okusanyusa abantu buli ku makya ate ng’erimu n’ebyenkulaakulana.
Kaliisoliiso eweerezebwa ku ssaawa emu n’ekitundu okutuuka ku ssaawa bbiri, okuva ku monday okutuuka ku Friday ku mukutu gwa Cbs Fm 88.8.
Engule ebaweereddwa Rotary Club ya Makindye West Kampala, ku mukolo ogubumbujidde Makindye Country Club.
Abawereeza ba program Kaliisoliiso abasiimiddwa kuliko Hajji Abu Kawenja, Hajji Abey Mukiibi Nkaaga, Rajab Kanakulya, ne Peace Dian Bagala.
Eva Kagona President wa Rotary Club eya Makindye West Kampala abebazizza okutakoma kukusanyusa bantu, wabula nebategeka n’ekijjulo kya Kaliisoliiso Dinner ekivaamu ensimbi ezikola ebintu ebiyamba abantu abalala.
Ezimu ku ntegeka eziyambiddwa ekijjulo kya Kaliisoliiso Dinner ly’eddwaliro lye Nkozi ewazimbibwa ekifo awanajjanjabirwa abantu abagudde ku bubenje.
Hajji Abey Mukiibi Nkaaga, avunanyizibwa mu kuteekateeka program za radio Cbs, yebazizza Rotary Club ya Makindye West Kampala olw`okusiima obuweereza bwabwe.
Bisakiddwa: Musisi John