Abakulembeze b’ekiwayi ky’ekibiina kya FDC ekituula ku Katonga road bagambye nti abakulembeze abalondeddwa ku kitebe e Najjanankumbi nti baabawadde byoya bya nswa, nti kubanga okusango oguwakanya okulondebwa kwabwe nti gukyali mu kooti.
Lord mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago agambye nti bakyalina ebintu byebakyanoonyerezaako okwongera okufuna obujulizi obukakasa nti ttabamiruka wa FDC eyatudde e Lugogo nebalonda abakulembeze abaggya nti yabadde katemba.
Mu kalulu akaakubiddwa Eng Patrick Amuriat Oboi yaazeemu okulangirirwa ng’omukulembeze wa FDC ekisanja eky’okubiri, yawaangudde Byamugisha Moses n’obululu 800 ku bululu 187.
Ssaabawandiisi Nathana Nandala Mafaabi naye yazeeko ku kifo kino nga tavuganyiziddwa.
Omwogezi wékiwayi kyo ku Katonga road Ibrahim Ssemujju Nganda agambye bagenda kuteekayo okusaba kwabwe mu kooti nga bagala omulamuzi Musa Ssekaana ave mu musango gwabwe, ku bigambibwa nti alina enkolagana ey’enjewulo n’abali e Najjanankumbi
Bino bijidde mu kiseera nga ssabawandiisi wékibiina kya FDC Nathan Nandala Mafabi yakalabula ekiwayi kyoku Katonga Road nti ensonga za FDC bazigendeko mpola okuva lwebalonze obukulembeze.#