Abagoba ba Bodaboda mu gombolola ye Kawempe bavudde mu mbeera nebaleka minister omubeezi owa Kampala mu luku𝝶aana, nga bamulanga okukozesa olulimi lwebagambye nti lubadde lubavoola n’okubalengezza.
Abagoba ba bodaboda abasukka mu 600 babadde baku𝝶aanidde mu bitundu bye Kawempe, okuwuliriza minister omubeezi owa Kampala ku ngeri gyebalina okutereezaamu omulimu gwabwe.
Minister Kabuye Kyofatogabye atuuse ku mukolo guno ku saawa nga kkumi na bbiri ezákawungeezi, wadde ngábagoba ba bodaboda baabadde bamusuubira kutuuka ssaawa munaana.
Aba bodaboda bano babaddewo mu bungi, wabula minister bwatandise okwogera tawezezza budde buwanvu, ababodaboda nebatandika okwecwacwana, nga bagamba nti minister ebigambo byábadde ayogera bibadde bibavvoola nga tebayinza kumugumiikiriza.
Basazeewo bonna nebaabulira obutebe nebalinnya bodaboda zabwe nebagenda, minister nasigalawo nábakuuma ddembe, nábannyini mizindaalo kwebabadde bogerera.
Omukulembeze w’abagoba ba Bodaboda mu Kampala Mawejje Frank ategezeza banna mawulire nti ba minister basusse okubayisa mu ngeri ezibavvoola, buli lwewabaawo ensonga ebakwatako.
Abagoba ba bodaboda bonna mu kibuga Kampala baaweebwa emyezi mukaaga okuba nga beeterezezza, bwebalemwa government eryoke esalewo ekyókubakolera.