Ttiimu y’essaza Gomba eraze amaanyi mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere bwerumbye Ssese omwayo mu kisaawe e Lutoboka Kalangala, egikubiddeyo goolo 2-1 mu mupiira ogubaddeko n’obugombe.
Goolo eziwadde Gomba obuwanguzi zitebeddwa Ssemanda Collines ne Peter Kyomuhendo, ate eya Ssese etebeddwa Kayemba Raymond.
Gomba bwetyo emenyewo likoda ya Ssese ebadde tenakubwamu mupiira gwonna e Lutoboka mu mpaka ez’omwaka guno.
Gomba era eyongedde okutangaaza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja Masengere, nga kati yakubiri n’obubonero 15, ate Ssese esigadde yakusatu n’obubonero 11.
Gomba ewangudde emipiira gyombi 2 gyesisinkanye Ssese mu mpaka zino, nga n’ogwasooka e Kabulasoke Gomba yakuba Ssese goolo 2-1.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe










