Abadde munnakatemba mugundiivu era munnabitone atasangikasangika Alex Mukulu afudde olwaleero nga 15 August,2026 oluvannyuma lwókulwalira akabanga.
Alex Mukulu afiiridde ku myaka egyóbukulu 72.
Yazaalibwa nga 20 November,1954.
Alex Mukulu yazaalibwa ku kyalo Miseebe mu saza lya Ssabasajja Ssingo, yazaalibwa abagenzi Paul Kayizzi ne Victoria Ndagire, yasomerako ku Kololo SS, gyeyava okwegata ku Makerere University gyeyasomera ebyókuyimba ne Katemba.
Ekisaawe kya Katemba yakyesogga okuva mu gye 70, ngómuzannyo gwe yasooka okuzannya nókuwandiika yagutuuma ‘Muzzakulu wa Kabangala’, era okuva olwo azannye emizannyo emirala mingi egy’ensonga omuli Wounds of Africa, 30 years of Bananas n’emirala.
Abadde muyimbi ng’ayimbye ennyimba okuli Bannakampala boogera, Ab’e Namutamba n’endala
Abadde mutendesi w’emizannyo
Azudde ebitone mu bavubuka
Aweerezza ku Radio ne TV
Bannakatemba abámannya bamutenderezza olwókubeera nébirabo, nga takoma kuzannya mizannyo kyokka, wabula agiwandiika era abadde agitendeka, okwo nágattako okuyimba, nókutendeka amazina.
Omukulembeze wa bannabitone owékibiina kya Federation of Performing Arts Andrew Benon Kibuuka akungubagidde omugenzi Alex Mukulu gwágambye nti abadde nnaamwatulira, teyemotyamotya ngékirungi akisiima ate nékibi ngákyatula.
Amusiimye nnyo olwókututumula katemba, nti era omugenzi oyo y’eyamanyisa abantu nti katemba mulimu, mu mbeera eyo bamuyigiddeko ebintu ebingi.
Benon Kibuuka era nga Mwami wa Kabaka owa gombolola ya Ssaabawaali Kasanje, ategezeza cbs nti ebbanga lyeyaakamala mu katemba abadde tanalaba muntu alina kitone nga Mukulu, kubanga abadde agatta byonna, ekitali ku balala.
Munakatemba Hajji Ashiraf Ssemogerere ategeezezza CBS nti Alex Mukulu yeyamusikiriza okuzannya katemba, námusiima nnyo olwómutindo gwe yayongera ku nteekateeka ya siteegi.
Omugenzi Alex Mukulu anajjukirwa nnyo ng’omunti abadde teyerya ntama, abadde musajja wa Kabaka ngénsonga za Buganda azisoosowaza, era akoze nnyo mu kutumbula olulimi Oluganda nóbuwangwa, so ng’abadde teyemotyamotya kwogera ku nsonga z’ebyobufuzi zaabadde alaba nga tezitambula bulungi nga bweyandisuubidde.
omukulemnbeze wa Bannakatemba Andrew Benon Kibuuka agambye nti bataddewo olukiiko olw’enjawulo olwetabiddwamu abóluganda ne banakatemba okukola ku nteekateeka ezókuwerekera omugenzi.#










