Minister w’ebyobulamu Dr. Chris Baryomunsi alumirizza abasawo abalindiridde okugezesebwa mu malwaliro abamanyiddwanga ba intern doctors nti waliwo abababuzaabuza nga babagaana okugenda mu malwaliro government gyeyabasindika, olw’okuba nga yayimiriza etegeka y’okubasasula ensako buli mwezi.
Nga bayita mu kibiina kyabwe n’ekibiina ekitaba abasawo mu ggwanga ki Uganda Medical association n’ebibiina by’abasawo abakugu abalala, basIimbye nnakakongo nti SSI bakulinnya mu malwaliro okugezesebwa singa government tessaawo nsako yabwe.
Balumiriza nti mu malwaliro government gyebasindika bebasinga okukola emirimu gyakalogoyi nga bajjanjaba abalwadde kale nga government erina okubawa ensako yabwe ebayambeko ku by’okusula, okulya n’okutambula nga bakola emirimu mu malwaliro gyebasindiikibwa okugezesebwa.
Wabula minister w’ebyobulamu Dr. Chris Baryomunsi asinzidde mu parliament naagamba nti nnaku ntono eziyise , yasisinkana abakulembeze b’abasawo bano nebabaako ensonga zebakaanyako, naye naababuulira government kyeteekateeka okukola okwanukula okwemulugunya kwabwe, nti wabula waliwo ababuzaabuza ba intern doctors nga babalemesa okugenda mu malwaliro okugezesebwa.
Wabula abasendasenda minister Baryomunsi taboogedde.
Minister Baryomunsi ategeezezza nti abasawo abagezesebwa SSI bakozi ba government nti balina okusasulwa omusaala.
Minister era abuulidde parliament nti wadde abasawo abagezesebwa bayambako mu malwaliro ga government, nti naye SSI kituufu nti bwebaba tebaliiwo nti amalwaliro ago gaggalawo, naawa ekyokulabirako nti mu kiseera kino gyebatali, amalwaliro gakola era abalwadde bafuna obujanjabi bulungi.
Wabula asuubiza parliament nti ensonga z’abasawo ba intern doctors bano azikolako, era mu bbanga erya wiiki emu, asuubira okuba nekyokuddamu eri parliament ku kya government wenaaba etuuse ku nsonga eno.
Ba intern Doctors bano, balina nsalesale wa nga 14 August,2026 okugenda mu malwaliro government
gyeyabagaba okutandika okugezesebwa, wadde nga government tenasalawo ku kyakubasasula nsako. #






