Abantu 14 bafiiridde mu kabenje akagudde e Kaamuwunga mu Lwera ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala, ate 4 basimattuse n’ebisago eby’amaanyi.
Abafudde babadde basaabalira mu mmotoka ya taxi Toyota Hiace (Drone) No.UA 662 AQ, etomeddwa emmotoka ya Sinotruck No. UBS 040F ebadde etisse omusenyu.
Omwogezi wa police e Masaka Twaha Kasirye agambye nti abawonyeewo 4, kuliko 2 ababadde mu taxi n’abalala 2 babadde mu Sinotruck, era bonna baddusiddwa mu ddwaliro ng’embeera mbi, ate ddereeva wa Sinotruck adduse.
Kasirye agambye nti omugoba wa Sinotruck abadde asala akagulumu naalumba taxi ku ludda lwayo naagikuba bwenyi ku bwenyi, essaawa zibadde nga mukaaga ogw’ekiro kya nga 03 August,2026.#








