Kooti enkulu mu Kampala esingisizza abantu 9 emisango gy’okutemula omukyala Susan Magara gwebaawamba mu February,2018.
Abasingisiddwa emisango kuliko Yusuf Lubega, Mahad Kisalita, Ismail Bukenya, Abubaker Kyewokya, Hassan Wasswa, Abbas Musa Buwembo, Hussein Kato Miiro, Hajjara Nakandi ne Muzamir Ssali.
Omulamuzi Alex Mackay Ajiji abasingisizza omusango oluvannyuma lw’okukizuula nti baatemula Susan Magara oluvannyuma lwa wiiki 3 nga bamuwambye, saako okusaba ab’oluganda lwe Kantanye w’ensimbi.
Baamuwambira Lungujja mu Kampala nga 07 February,2018, nga mu kiseera ekyo yali ayogera ku ssimu ne mukwano gwe Yusuf Muhindo.
Muhindo yaseemba okuwulira Susan Magara ng’awoggana ku ssimu, ng’ayogera mu luganda nti “Temunkuba”.
Baddamu okumukubira essimu nga tazikwata, ate oluvannyuma emmotoka ye ekika kya Toyota RAV4, nebagizuula e Lungujja ng’ekyatokota nga n’essimu ze mweziri.
Oluvannyuma lw’ennaku abawaambi baasaba ab’oluganda lwa Magara akakadde ka ddoola ya Amrica kamu n’ekitundu. Oluvannyuma lw’okulamuza baakendeezako nebasaba emitwalo 200,00 egya ddoola.
Wabula wadde nga kitaawe John Magara yabaweereza ensimbi ezo, wabula muwala we tebaamuyimbula.
Abawambi baamutemako engalo bbiri nebaziweereza ab’oluganda lwe, wamu n’akatambi kebaali bakutte nga Susan Magara alaajana.
Oludda oluwaabi lwaleese abajulizi 46 n’ebizibiti 80 exhibits, omuli endaga butonde ezaasangibwa ku mulambo, essimu zebaakubanga.
Abavunaanibwa abamu baakwatibwa okusinziira ku ssimu zebaakubanga nga bali mu kifo ewattibwa Magara, abalala bannabwe baabalonkoma, era ng’abamu babasaanga baguze n’ebintu eby’ebbeeyi, nga biraga nti baabigula bamaze okufuna ensimbi eza Kantanye eyabaweebwa Taata w’omugenzi nga ye John Magara.
Kooti egenda kuddamu okutuula okubatyemulira ebibonerezo nga 04 August,2026.
Bisakiddwa: Betty Zziwa







