Nnaalinnya Lubuga Agnes Nnabaloga akuutidde abavubuka okwongera okunyweza obuwangwa n’ennono zaabwe kibayambe okuzuula obugagga ebirimu.
Akubirizza abantu okwettanira okusiimba emituba.
Mu ngeri yeemu Ssaabasumba asabye abavubuka okwettanira omwoleso guno kibayambe okufuna amagezi agatandikawo ebintu eby’enjawulo.
Babadde ku kitebe ky’ekitongole ky’Obwakabak eky’ebyobulambuzi ki Buganda Heritage and tourism board okumpi n’olubiri lw’e Mengo, webatoongolezza omwoleso ogukwata ku lubugo n’emisono, gugenda kumala ennaku 30.
Minister avunaanyizibwa ku Bakadde mu ministry y’ekikula ky’abantu Jacqueline Mbabazi agambye nti government yaakukolagana n’obukulembeze bw’ennono okutumbula Olubugo n’obuwangwa n’ennono kubanga bisobola okutumbula eby’enfuna .
Minister wa Buganda owa gavumenti ez’ebitundu owekitiibwa Joseph Kawuki asabye gavumenti okukozesa ebintu Katonda bye yawa Uganda okukulaakulanya e ggwanga.
Omukolo guno gwetabiddwako bannaalinnya, abalangira n’abambejja, abataka abakulu ab’obusolya ba minister ba Kabaka abaliko naabawummula, banna Ddiini, abakungu ba Kabaka n’abantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus












