Bannamukago bÓbwakabaka, abantu kinnoomu, amasaza ga Buganda, amasomero n’ebitongole ebyenjawulo biwaddeyo amakula, ng’emu ku nteekateeka y’okukuza amatikkirwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebu II, ag’omulundi ogwa 33.
Amatikkirwa gakubaawo nga 31 July,2026, era emikolo emikulu gitegekeddwa ku Watoto Church e Bweyogerere.
Ab’ekitongole ky’obwannakyewa ki Indo Africa Charitable society batonedde Maasomooji emmotoka kapyata omuli ekkeberero lyÉndwadde ezenjawulo.
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu ggwanga ki National Drug Authority nga kikulembeddwa Dr. Brian Ssekayombya, kitonye extra Mama kits 100 Ssabasajja zanaasiima ziweebwe bannakazadde bÉggwanga, Ekyuuma ekisalira Emiti mu Mbiri za Masomooji n’ebintu ebirala bingi.

Amakula Amalala mubaddemu Ente , Embuzi, Enkoko, Amaji, Amatooke, Gonja, Sukaali, Omuceere, Akawunga nÁmakula amalala mangi, nga bino byonna biwebwaayo nga akabonero akookuddiza Nyini Ttaka, Ssaabataka.
Bwabadde atikkula Amakula gÓmutanda mu Lubiri e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza Abantu ba Kabaka omuli ne bannamukago, olwÓmukwano omusuffu gwebalaze Empalabwa.
Akulembeddemu entekateeka yÁmakula era nga ye mwami wa Kabaka akulembera essaza Busiro Ssebwaana Charles Kiberu Kisiriiza, yeebaziizza abantu ba Kabaka bonna abakoze ekisoboka nebaleeta Amakula.

Akulira bannansi ba Buyindi mu Uganda Anantha S.R Iyer yeeyamye okusigala ng’akolagana nÓbwakabaka , okutumbula ebyenjigiriza, Obuwangwa nÉnnono wakati wÁbantu ba Buyindi ne Buganda.
Father Vincent Lubega akiikiridde ba White Fathers, abaleese ekifaananyi Ssekabaka Muteesa II nga ali neeyatandikawo ekitongole kya ba White Fathers nga bali e Rooma, agambye nti kibadde kibakakatako okuzza ebyafaayo byÉbifaananyi ebyensonga mu Bwakabaka.
Ssentebe wÓlukiiko oluteeseteese amatikkirwa aga 33, Owek Joseph Kawuki, ategeezezza bannamawulire mu Mbuga yÓbwakabaka enkulu mu Bulange e Mengo nti Enteekateeka yÁmatikkira egenda kutandika nÓkusaba mu kkanisa ya Watoto e Bweyogerere ku ssaawa nnya ezenkya, kukomekkerezebwe ku ssaawa ttaano.
Captain Hawa Nassimbwa nga yámyuuka akulira ebyokwerinda mu Bwakabaka, asabye abantu bÓmutanda abaweereddwa obulambe okuyingira n’ebidduka nÓkutuuka wonna awalagiddwa bagondere enteekateeka ezikoleddwa.
Amyuuka omwoogezi wa poliisi mu Kampala nÉmirirwaano Luke Oweyisigire, agambye nti poliisi yaakuwa abantu bÓmutanda bonna obukuumi, nga ekolaganira wamu nÁmagye.
Bisakiddwa: Kato Denis












