Eyaliko omubaka wa Butambala Muhammad Muwanga Kivumbi asindikidwa ku alimanda, oluvannyuma lw’ennaku 19 ng’akuumibwa ng’akuumibwa mu kifo ekitamanyiddwa.
Ebitongole by’okwerinda byonna bibadde byategeeza nti bibadde tebimanyi bakwata Kivumbi, era nti tebimanyi gy’abadde akuumibwa.
Kivumbi yakwatibwa mu bitundu bye Mpigi nga 10 July,2026, nga waali wakayita olunaku lumu lwokka ng’ateereddwa ku kakalu ka kooti, ku misango gy’obutujju egyamuggulwako government ng’akalulu ka 2026 kaakaggwa.
Kivumbi aziddwayo mu kooti e Butambala naggulwako emisango emirala okuli ogw’okukuma omuliro mu bantu n’okukuba olukuηaana olumenya amateeka.
Bannamateeka be nga bakulembeddwamu Medard Lubega Ssegona basabye kooti emiyimbule ku kakalu kaayo, wabula omulamuzi neyeerema.
Omulamuzi ataddewo olwa nga 11 August,2026 lwanaakomezebwawo mu kooti.#












