Ekibiina ky’ebyobufuzi ki National unity platform mu butongole kiwandiikidde omukago ogutaba ebibiina ebirina ababaka mu parliament nga kibitegeeza mu butongole enkyukakyuka ezaakoleddwa mu bukulembeze bw’ekibiina kino era ng’omubaka wa Manjiya,John Baptist Nambeshe y’akolanga president ow’ekiseera.
Mu bbaluwa ewandiikiddwa Ssabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya eri omukago gwa IPOD, kyanjuddeyo erinnya lya JohnBapstist Nambeshe omukulembeze owekiseera, era kisabye IPOD gweeba ekolagana naye mu kusaba NUP kweyasaaayo okuyingizibwa mu mukago gwa IPOD
President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu akyali bweru w’eggwanga , yagyako omumyukawe Lina Zedriga obuvunaanyizibwa bwokukulembera ekibiina kino mu nkola eyekiseera, nabukwaasa omumyuuka we omulala JohnBaptist Nambeshe
Okugyako Lina Zedriga obuvunaanyizibwa kyajjira mu kiseera ng’ekibiina kekijje kiwandiikire omukago gwa IPOd nga kiteekayo, okusaba omukago guno gukkirize Lina Zedriga akiikirire Omukulembeze w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu mu kuteeka omukono ku ndagaano eyingiza ekibiina kino mu mukago.
Okuyingira mu mukago kyakukisobozes okuganyulwa mu bibala ebiri mu IPOD okuli okuweebwa ensimbi government zeewa ebibiina ebirina obwa memba mu IPOd
Wabula ensonda zibuulidde CBS nti abamu ku ba ssabawandiisi bebibiina ebirina obwa memba bwa IPOd bekengedde nti okukyusakyusa kuno kwandivaako ebizibu, kubanga ne John Baptist Nambeshe ayinza okugibwawo esaawa yonna nekiteeka omukago mu kusoomozebwa.
Mu kiseera nga olukiiko lwa IPOD summit olw’abakulembeze b’ebibiina ebirina obwa memba lunaatera okutuula, IPOD yawandiikidde Ekibiina ki Alliance for National Transformation nti okwetegeka okwetaba mu nsisiinkano ya IPOD, wabula yo NUP tenaddibwamu olw’embeera eriwo mu bukulembeze bwayo.
Mu kiseera kino waliwo bingi ebigenda mu maaso mu IPOD, era ng’ akakiiko k’ebyokulonda kateekateeka okuwaayo ensimbi eri ebibiina byobufuzi byokka ebirina obwa memba bwa IPOD okuli NRM, UPC ,DP ne FDC
Kigambibwa nti Obuwumbi bwa shs 11 n’ekitundu, ez’etundutundu lyomwaka gwebyensimbi erisooka, ministry yebyensimbi yazifulumya dda okugenda eri akakiiko kebyokulonda nga zino zezigenda okusindiikibwa eri ebibiina ebyo byokka ebirina obwa memba mu IPOD.#











