Abantu 4 bafiiridde mu kabenje ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala, emmotoka mwebabadde basaabalira zitomereganye mu kiro ekikeesezza leero nga 22 July,2026.
Kagudde ku kyalo Matanga mu kkoona erimanyiddwa ennyo nga Ndikuttamadda.
Police egamba nti emmotoka ebaddeko namba za Congo CGO/9638AF/19 Benz tuleela, ebadde egezaako okuyisa netomera emmotoka endala box body No. UBQ 238D ebaddemu abantu 4, abasatu nebafiirawo ate omu addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.
Police etegeezezza nti omugoba mmotoka ebaddeko namba za Congo ategerekese nga ye Ssanswa Kanyamunyo naye afiiriddewo mu kabenje kano.
Omwogezi wa police benddodenddo lye Masaka Twaha Kasirye agambye nti emirambo gitwaliddwa mu ddwaliro e Masaka, sso nga n’emmotoka ezikoze akabenje zitwalidda ku police nga okunonyereza bwekugenda maaso.
Asabye abagoba b’ebidduka okwewala okuvugisa ekimaama n’okubayisiza mu bifo eby’obulabe.#











