Club ya Azam egucangira mu liigi ya babinywera eya Tanzania mu butongole erangiridde nti ekaansizza omuwuwutanyi munnauganda Hassan Mubiru.
Hassan Mubiru atadde omukono ku ndagaano ya myaka 2.
Hassan Mubiru okugenda mu club ya Azam avudde mu club ya Villa Jogo Ssalongo eya Uganda Premier League.
Omuzannyi ono yafuna akatale akatuuse n’okmutwala e Tanzania olw’omutindo gwe yayolesa season ewedde ku Villa Jogo Ssalongo.
Amangu ddala nga yakamala okuzannya omupiira gwe ogwasembayo ku Villa Jogo Ssalongo ogwa final ya Uganda Cup, Kitara mweyabakubira goolo 2-1, enteekateeka ez’okugenda e Tanzania zatandikirawo mbagirawo.
Hassan Mubiru egenze okugenda mu liigi ya Tanzania, nga ne munnauganda omulala Allan Okello kyajje agende mu club ya Yanga Africans nayo ya Tanzania mu January omwaka guno 2026.
Hassan Mubiru era yegasse ku bazannyi abalala bannauganda abazannyiddeko club ya Azam okuli Brian Umonyi, Brian Majwega ne Nicholas Wadada, ewamu ne George Best Nsimbe eyaliyoko ng’omutendesi.
Hassan Mubiru ettuttumu yasooka kulifunira mu mpaka z’Amasaza ga Buganda, nga yazannyirako ttiimu y’essaza Busiro ne Butambala, olwo neyegatta ku club endala ez’amaanyi okuli KCCA FCne Express mukwano gwabangi.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe











