Olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Ssingo lulangiridde Allan Kabonge Kivewala nga omutendesi omugya owa ttiimu eno, mu kwongera okusitula omutindo gwayo ogukyali wansi mu mpaka z’amasaza ez’omwaka guno 2026.
Allan Kabonge alondeddwa okudda mu bigere bya Emmy Kisakye eyafuumuddwa ku mulimu guno wamu naabamyukabe.
Allan Kabonge emirimu gye agitandikiddewo mbagirawo, era Ssingo egenda kuzaako kuzannya ne Bugerere ku Sunday nga 19 July,2026 e Mityana.
Ssingo eri mu kibinja Muganzirwazza Butambala kyekulembedde n’obubonero 10, Bugerere yakubiri n’obubonero 05, Ssingo yakusatu n’obubonero 05, Kkooki yakuna n’obubonero 05, Mawogola yakutaano n’obubonero 05 ate Kabula yesembye erina akabonero kamu.
Allan Kabonge era yaatendekako ttiimu y’essaza Busujju, Busiro, Buweekula ne Buddu.
Ssingo omwaka ogwayita 2025 yatuuka ku fayinolo wabula Buweekula negitwalako ekikopo bwe yagikuba goolo 1-0 mu kisaawe e Nakivubo.
Ssingo yakawangula empaka z’aMasaza emirundi 2 mu 2015 ne 2018.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












