Ensoke egoyezza abantu be Nakibanga, ku Kizinga Bukasa e Kalangala.
Abasoba mu 20 ebintu byabwe byonna bisaanyeewo n’ennyumba mwebabadde basula neziggyako obusolya.
Ensoke eno ebaddewo nga 13 July,2026 ku ssaawa nga biri ezokumakya.
Waliwo abantu abalumiziddwa era batwaliddwa mu Ddwaliro e Bukasa mu gombolola ye Kyamuswa.#