Obukadde bwa shilling 139 n’omusobyo bwebuleeteddwa abantu ba Kabaka mu nkola ya Luwalo lwange, n’ekigendererwa kyÓkukwasizaako Obwakabaka.
Ensimbi zino zivudde mu masaza agawerako okubadde Gomba, Kabula,Kyaggwe ne Kyadondo, era mubaddemu Amasomero ku mutendera gwa Nursery, Primary ne secondary.
Gombolola ezeetabye mu Luwalo lwange nga 07 July,2026 kubaddeko Mumyuuka Mpenja, Ssaabaddu Maddu , Ssabawaali Kyegonza ne Ssaabagabo Kabulassoke okuva mu Ssaza Gomba.
Abalala bavudde mu gombolola ya Ssabawaali Kaliiro mu ssaza Kabula, Mumyuuka Nakifuma mu ssaza Kyaggwe, gombolola ya Mutuba 6 Mukulu wa Kibuga Mengo Lubaga ne Musaale Busukuma mu ssaza Kyaggwe.
Bwabadde atikkula Oluwalo luno mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti musanyufu eri abantu ba Kabaka abakola ennyo nga tebeebalira, nebafuna ensimbi ezibasobozesa okuweerera abaana nÓkwekulaakulanya.
Katikkiro agambye nti awo Obwakabaka webusiimbye okulaba ng’abantu ba Kabaka babeera mu bulamu obweyagala, nga baweerera abaana, balima emmere emala okulya n’okutunda okufunamu ensimbi, nga bewala endwadde n’okwejjanjabisa, awamu n’okwewummuzaamu buli kadde akagere.
Katikkiro asabye bannabyaabufuzi abaayitamu mu kalulu akaakaggwa aka 2026 mu bifo ebyenjawulo, okuweereza Abantu ba Kabaka n’obwesiimbu, ate naabo abataayitamu obutakoowa kukola, n’okuwagira enkola ya Luwalo Lwange.
Minister wa gavumenti zebitundu mu Bwakabaka Owek Joseph Kawuki, asabye abantu ba Kabaka obutesulubabba kugenda kulonda bakulembeze ku mutendera ogwa LC esooka, kuba Obuweereza kwebutandikira.
Abantu ba Kabaka abeetabye mu Luwalo luno beyanzizza Omutanda okubalambika Obulungi, era beeweze okugenda mu maaso okubakulaakulanya.
Bisakiddwa: Kato Denis













