Bannamateeka basabiddwa okukubiriza bakasitoma baabwe abalina emisango mu kkooti enkulu ewozesa emisango gy’amaka, okwettanira enkola ey’okutabagana (mediation) okugonjoola emisango mu bwangu.
Akulira abalamuzi ba kkooti enkulu, Jane Frances Abodo agambye nti bannansi bangi abalina emisango mu kkooti bawuliriza nnyo bannamateeka baabwe okusinga omuntu omulala yenna.
Okwongera bino omukamuzi Jane Frances Abodo abadde atongoza enkola ya Mediation etumiddwa Mediation Fortnight mu kkooti ewozesa emisango gy’amaka e Wandegeya.
Amyuka omuwandiisi wa kkooti mu kkooti eno Juliet Komugisa agambye nti kkooti etunuulidde okugonjoola emisango egitakka wansi wa 400, nga bayita mu nkola eno ey’okutabagana.
Ekitongole ekiramuzi kisuubira nti enkola ya Mediation ejja kuyamba okukendeeza ku bungi bw’emisango egiri mu kkooti, abagugulana batabagane mu mirembe awatali kusaasaanya ssente nnyingi.
Bisakiddwa: Betty Zziwa













