Ba minister abaggya batandise okubangulwa ku ntambuza yemirimu mu government mu kisanja kino 2026-2031 ,mu mussomo ogugenda mu maaso a Kyankwanzi
Okubangula kuno kuyindira Kyankwanzi mu bbanguliro lya government erya National Leadership Institute NALI.
Ba minister abaggya abakegatta ku lukiiko lwaba minister naabo abakadde abaddamu okulondebwa mu kisanja kino, bonna betabye mu kutendekebwa kuno.
Akulira abakozi ba government Lucy Nakyoobe era nga ye muwandiisi omukulu ow’olukiiko lwaba minister yakuliddemu enteekateeka eno, egenda okumala wiiki namba.
Ba minister bano bwebaali bakuba ebirayiro byabwe mu maaso g’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa,mu Maka gobwa president Entebbe, yategeeza nti okubangula kwaba minister kwabuwaze, SSI kwakyeyagalire era yalagira ba minister bonna babeereyo e Kyankwanzi
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa bw’abadde aggulawo olusirika lwabwe abalabudde okwewalira ddala okukozesa ensimbi z’omuwi w’omusolo okwegaggawaza,naagamba nti ensimbi z’omuwi w’omusolo zirina kukozesebwa ku bintu ebiyamba bannansi SSo SSI kugaggawaza abo abali mu wofiisi.
Abagambye nti ekisanja kino SSI kyakwebakiramu, buli akwasiddwa obuvunaanyizibwa abukozese okubbulula bannansi abawejjere nga bakozesa enteekateeka za government ez’okwekulaakulanya.
Museveni agambye nti obukulembeze SSI offiisi wabula okukozesa offiisi ezo okutuusa ku bannansi obuweereza naalabula ba minister nti tayagala kuddamu kuwulira kintu kiyitibwa emboozi y’obwavu mu bannansi.
Museveni bwatyo alagidde ba minister bave mu offiisi zobwa minisita bagende mu bannansi babasomese, babanyonyole enteekateeka za government ezokulwanyisa obwavu, naagamba nti tekiriimu makulu okweyita minister oba omukulembeze nga abantu bokulembera bali mu bwavu obuwunya.
.#












