Naggagga Bifekeera asiinga obugagga mu nsi yonna Omumerica Elon Musk; alangiriddwa ng’omuntu asookedde ddala okuweza obugagga obubalirirwamu Trillion nnamba eya Dollar.
Elon Musk kati ayitibwa Trillionaire; ye nnyini kkampuni ya Technologiya eya SpaceX, Kkampuni ya Tesla ekola emmotoka ez’amasannyalaze, satellite n’ekitundu ku Technologiya wa AI, nga obugagga bw’alina teri yali abufunye mu nsi yonna.
Okunoonyereza kw’omukutu gwa Forbes kulaze nti okuva Musk lwe yasazeewo okutunda emigabo mu zimu ku kkampuni ze, mu lunaku lumu yatunze emigabo gya Dollar obuwumbi 75, ekitabangawo mu byafaayo by’ensi.












