Ennaku z’omwezi ziri 09 June, buli mwaka lwerujjukirirwako abazira ba Uganda, naddala abo abeetaba mu lutalo olwaliro wakati wa 1981 -1986, olwaleero government ya NRM mu buyinza.
Omu ku bazira abajjukirwa ennyo ye Edidian Mukiibi Luttamaguzi ayogerwako nti yeyakweeka eyali akulira abayeekera ba National Resistance Army abaali bakulirwa Yoweri Kaguta Museveni, amagye ga government ya Miton Obote bwegaali gamugudde mu buwuufu.
Mwami Museveni yasimattuka era kati emyaka giri 40, bukyanga ye banne bawangula olutalo lw’ekiyeekera mu January 1986.
Mu mwaka 2001, Olunaku luno olwa nga 09 June yalulangirira nti lwakuwummula mu ggwanga lyonna, ne kubitebe bya Uganda ebisangibwa mu mawanga amalala okujjukira abazira abo abaafiira mu lutalo luno, naabo abalina kyebakoze okukyuusa eggwanga lino mu buweereza obw’enjawulo.
Olunaku lw’omwaka guno 2026, government yasazeewo lukuzibwe mu nkola eya Science nga omukolo guli mu maka gobwa President Entebbe ng’abantu 25 bebaayitiddwa abalala bakugugoberera okuyita ku mikutu gy’ebyempuliziganya.
Minister w’ensonga zobwa President Milly Babalanda yategeezezza nti kino kyakolebwa okwewala ekirwadde kya Ebola ekitadde eggwanga ku bunkeenke.
Hajji Abdu Nadduli omuwabuzi wa President ku nsonga za Buganda nga yoomu kubaali abalwanyi abaaleeta government eno mu buyinza, agambye nti wadde waliwo okusoomozebwa okutonotono, naye olunaku luno lwankizo nnyo okukukuzibwa okujjukira abo abaalwanirira eggwanga lino.
Christopher Kabuye Kyoffatogabye Minister omubeezi owa Kampala nga yoomu ku baana babalwanyi naye agamba, nti abafiirira eggwanga lino baasima omusingi eggwanga kweritambulira olwaleero era basaanye okujjukirwa.
Wabula ssentebbe wa district ye Luweero, Erenesto Kibiranga agamba nti okugyako okuwulira nti emikolo gikuzibwa buli mwaka, bannaLuweero district etambulirako ensonga zolunaku luno tebalina kyebaganyuddwa wadde, so nga naabazirwanako bagamba nti bangi tebaganyuddwa.
President Yoweri Museveni azze alabula abaazirwanako mu lutalo lwékiyeekera olwaleeta NRM mu buyinza, nti bakomye okwekubagiza olutatadde nókusuubirizanga mu kuweebwa obuweebwa buli kintu, wabula beyambise enkola za government omuli Parish Development model n’Emyooga okwekulaakulanya.#













