Bazzukulu ba Nankere abeddira Emmamba Kakoboza Basitukidde mu Ngabo y`Omwaka guno 2026, mu mupiira ogw’ebigere mu mpaka z’emipiira egyebika by’Abaganda.
Engabo ebakwasidswa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu kisaawe e Wankulukuku ewanyumidde fayinolo z’Ebika by’Abaganda.
Emmamba ewangudde Bazukulu ba Mugema abeddira Enkima ku mugate gwa goal 4 ku 3 mu kakodyo ak`okusimuligana Penati, oluvanyuma lw’eddakiika 90 okuggwako nga tewali alengedde katimba ka munne.
Ate mu mupiira ogw’abakazi ogw`okubaka, Bazukulu ba Katongole abeddira Ente bebasitukidde mu Ngabo y`omwaka guno,bameze bazzukulu ba Gabunga abe Mamba Namakaka ku bugoba 49 ku 48.
Mu mipiira egyasooseewo mu kulwanira ekifo eky`okusatu, Ekkobe liwangudde Engo ku ggoolo 1 -0 mu mupiira gw’abasajja ogwebigere.
Ate mu mupira ogw’abakazi ogw`Okubaka mu kulwanira ekifo eky`okusatu, Engabi Ensamba ewangudde Ennyonnyi Enyange ku bugoba 41 – 39.
Omumyuka ow`Okubbiri ow`Olukiiko oluteesiteesi olw`emipira gyebika by’Abaganda Dr. Sarah Muwonge Nkonge, atenderezza omutindo ogwoleseddwa mu Mpaka z`omwaka guno, nti gubadde gwanjawulo nnyo.
Katikkiro w’ekika ky`Emmamba Kakoboza Omutaka Miro Herbert Mulindwa Yusuf Mukulu Wawadda, agamba guno gwemulundi gwabwe ogusookedde ddala okuwangula Engabo y’abasajja mu mupiira ogw’ebigere, era nategeeza nti kati basimbudde n’Engabo endala bagenda kuziwangula.
Katikkiro Wekika ky`Ente Omutaka Mukasa Muwayiire Yusuf Kanyadde, yebazizza nnyo bazzukulu be olw`okubatuusa ku buwanguzi bw’Engabo y’Okubaka.
Captain wa Team y’ekika ky`Ente mu mupiira ogw`okubaka era abasitukidde mu Ngabo y`Omwaka guno 2026, Nakyanzi Christine, agambye nti esanyu lyebawulira lya Mwoki wa gonja.
Captain w’ekika ky’Emmamba Namakaka, Namutebi Scovia nga bakutte kifo kyakubiri, ategezezza nti wadde Engabo tebajitutte naye booleseza omutindo ogw’ekika ekyawaggulu.
Bisakiddwa: Musisi John











