Omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Allan Okello, alondedwa nga omuzannyi asinze banne okucanga endiba omwezi oguwedde ogwa May 2026.
Allan Okello nga omupiira ogw’ensimbi agucangira mu club ya Young Africans eya Tanzania, abadde musaale nnyo mu kuyambako club eno okunywerera ku ntikko ya liigi ya Tanzania, ateebye goolo eziwerako n’okukola emikisa egivaamu goolo.
Allan Okello alondeddwa banna byamizannyo abegattira mu kibiina kya Real Stars Sports Agency.
Ku ngule eno amezze banne okuli captain wa ttiimu y’eggwanga eyabazannyi abatasusa myaka 17 eya Uganda Cubs Owen Mukisa n’omuteebi wa Villa Jogo Ssalongo Charles Lwanga.
Christine Namulumba omuzannyi owa club ya Prisons ey’okubaka, yasinze mu kubaka naddala nga yabadde musaale nnyo mu kuyambako club eno okuwangula empaka eza East Africa.
Peruth Chemutai yasinze mu muzannyo gw’emisinde.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













