Government mu butongole erangiridde obutaddamu kutegeka mikolo gy`okukuza ennaku enkulu eza Public Holidays, olwo ensimbi ezibadde ziyambisibwa mu kutegeka emikolo gino ziteekebwe mu bintu ebirala ebikulaakulanya eggwanga.
Omuteesiteesi omukulu owa Ministry y’ebyensimbi Ramathan Ggoobi, bwabadde atongoza omwezi gwembalirira ogumanyiddwa nga Budget Month, ategezezza nti baaluηamiziddwa Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, nga yabalagidde obutaddamu kutegeka mikolo gya public Holidays, era nti ku nnaku ezo President wakusinziiranga mu State House awe obubaka bwe eri eggwanga.
Ramathan Ggoobi ategezezza nti mu mbalirira enaatera okusomebwa eya trillion 84.39, ssente ezisinga obungi zigenda kuteekebwa mu by`obulimi n`obulunzi, eby`obulambuzi, eby`obugagga eby`omuttaka n’amakolero, Obuyiiya Science n`okutumbula ebitone.
Sente endala zigenda kuteekebwa by`okwerinda, okutumbula eby`obulamu n’ebyenjigiriza, okukola enguudo, okwongera okubunyisa amasanyalaze n`okwongera kubungi bw’amabibbiro g’amasannyalaze.
Ramathan Ggoobi agamba nti mu mbalirira eri mu bubage bagala okukendeeza ku bungi bwa ssente ezewolebwa ebweru w’eggwanga, nebasaba bannauganda abalina embavu okwesowolayo bawole government.
Government eyongeddeko nti wadde embaliriira eri mu bubage yamala dda okutekeebwatekeebwa, naye ate era bagenda kwekwata kwata balabe webaggya ssente ezigenda okuyambako ministry yeby`obulamu mu kulwanyisa ekirwadde ky`Ebola.
Bisakiddwa: Musisi John













