Ekibiina ki NUP kironze abagenda okukulira oludda oluvuganya government mu parliament ey’omulundi ogwe 12, ng’omubaka Joel Ssenyonyi asigadde ku kifo ky’akulira oludda oluvuganya government mu parliament, era ky’abaddemu mu parliament eye 11.
John Baptist Nambetshe agenda kubeera Commissioner wa parliament.
Betty Nambooze Bakireke wakukulira akakiiko aka government ez’ebitundu, amyukibwe Mudhobole
Francis Zzaake wakukulira akakiiko akalondoola ebisuubizo bya Government, wakumyukibwa Anne Adeke
Akakiiko ka COSASE kakukulirwa Muwada Nkunyingi, amyukibwe George Musisi.
PAC yakukulirwa Nsamba Patrick nga ssentebe amyukibwe Sarah Lwansasula.
Paul Mwiru yagenda okubeera Nnaampala (Chief Whip) w’ababaka mu parliament ng’amyukibwa Harriet Nakwedde.
Omukulembeze w’ekibiina kya NUP ow’ekiseera, Linah Zedriga alabudde abalondedwa mu bifo ebyo okwewala enguzi mu parliament, gy’agambye nti ettattanye ekitiibwa kye Ggwanga.
Mu ngeri yeemu awadde amagezi abawanguddwa mu bifo ebyenjawulo, okusigala nga bali bumu baleme kuteekawo mbeera eyawula mu kibiina.#












