Olwa leero ennaku z’omwezi ziri 03 May,2026, bannamawulire okwetoloola Uganda, beetabye mu kujaguza n’okwefumiitiriza ku lunaku lwabwe luno olukwatibwa mu nsi yonna olumanyiddwa nga World Press Freedom Day.
Emikolo emikulu gibadde ku kisaawe ky’essomero lya Kitante primary e Kamwokya.
Ebitongole ebyenjawulo bijagulizzaako bannamawulire, era byetabye ne mu mpaka z’omupiira ogw’ebigere, ng’ebimu ku bikujjuko by’okukuza olunaku luno.
Mubaddeko amatendekero agasomesa bannamawulire, n’ebitongole ebimu bannamawulire gyebasaka amawulire, saako ebyo ebitakabanira eddembe lya bannamawulire.
Obwakabaka bwa Buganda nabwo bwetabye mu nteekateeka eno, era minister avunanyizibwa ku by’obulamu, ebyenjigiriza n’enkulakulana y’abantu, Owek Cotilda Nakate Kikomeko, mu bubakabwe eri bannamawulire mu ggwanga, agambye nti ekiroowoozo kyokusalawo okutegeka emipiira kirungi ddala kuba kiyambako mu kukola dduyiro n’okutaasa obulamu bwabwe.

Owek Cotilda Nakate Kikomeko era agambye nti bannamawulire mu Uganda, bayambyeko Obwakabaka mu kubunyisa ebikwata ku bwakabaka n’okumanyisa enteekateeka z’ebyenjigiriza neebyobulamu mu Buganda.
Owek.Nakate era akubirizza bannamawulire okufunangayo akadde okufa ku bulamu bwabwe sso ssi kulinda lunaku luno lwokka, era n’okukolayo emirimu emirala egiyingiza ensimbi okulinnyisa ennyingiza yabwe.
Omulamuzi wa kooti ento eye Padel, Kirya Martins, nga yaakulembeddemu ekibiina ekitaba abakozi mu ssiga eddamuzi, mu kibiina ekya Uganda Judicial Officers Association, asinzidde ku bikujjuko bino naawabula government okukola ennoongosereza mu ssemateeka, bannamawulire batekebwemu ng’essiga lya government eryetongodde mu kifo kyokubayita aboomugaso naye nga tebalina webalabikira mu nteekateeka zaayo.
Agambye nti government esaanye n’okukwasizaako ebitongole by’amawulire nti kubanga omulimu gwabwe gusiimba butereevu ku nkulaakulana y’eggwanga, naddala mu kiseera kino ng’amawulire gaddukira ku misinde mingi, ate ng’abantu balina okufuna amawulire amatuufu agesigika, n’okukulaakulanya eggwanga.
Rashid Ssekindi, ssentebe w’abavuzi ba Takisi ekya Federation of Uganda Tax operators, (UTOF), agambye nti government nebitongole ebikuuma ddembe bisaanye okusaawo enkolagana ey’omuggundu ne bannamawulire mu kukola omulimu gwabwe.
President w’ekibiina ekitaba bannamawulire mu Uganda, ekya Uganda Journalists Association, Mathias Rukundo, agambye nti emizannyo gino gigendereddwamu okwongera okusiga obumu mu bannamawulire, n’okufunayo akadde ak’okuwummulamu.
Empaka z’emizannyo gya bannamawulire mu kukuza olunaku lwabwe zigenze okukomekerezebwa nga ekitongole kya Media Challenge Initiative, (MCI), ekikulirwa munnamawulire Ivan Kimuli Kigozi, kyekiwangudde ekikopo ky’omwaka guno 2026.
MCI ekikubye ttiimu ya Rest TV ggoolo 4-3 mu penalties oluvanyuma lw’okulemagana ggoolo 1-1.
Bisakiddwa: Ddungu Davis










