Abadde Munna Mawulire wa bbs Terefayina Joseph Sseruwooza aziikiddwa Kyalo Bwenzitiire mu District ya Rakai mu Ssaza Kooki, era ayogeddwako ng’abadde omukozi ennyo, era nga takulembeza sente ng’akola emirimu.
Sseruwooza yafa mu kiro eky’akeesa Friday nga 19 June,2026 mu Uganda heart institute e Mulago.
Abadde amaze akabanga ng’atawanyizibwa ekirwadde kya Alcers, wabula yafudde omusaayi ogwetukuse ( blood clot) gwalemesezza omusaayi okutambula nga guva ku mutima.
Laadiyo ya Kabaka CBS esaasidde ab’Oluganda abako n’emikwano gya Sseruwooza olw’okufiirwa omuntu ow’omugaso gw’eyogeddeko ng’abadde omuweereza ow’enjawulo.
Bino bibadde mu bubaka bwa Ssenkulu wa CBS Omukungu Micheal Kawooya Mwebe obumusomeddwa akulira okunoonyereza ku CBS Dr. Sam Kazibwe.
Dr Sam Kazibwe abadde akola ne Sseruwooza Programme emanyiddwa nga Zuukuka n’ensonga ku BBS Terefayina buli Lwa kutaano, ga eno ebeerawo ku makya era ku lulwe ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde ayaayaanira okuyiga n’okumanya.
Amyuka sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa mu bubaka obumusomeddwa Hon Joseph Ssewungu Gonzaga ayogedde ku Sseruwooza ng’omu ku banna Mawulire ababadde bakola emirimu gy’abwe mu ngeri y’ekikugu.
Ssenkulu wa bbs Terefayina Omukungu Eng Patrick Ssembajjwe atenderezza Sseruwooza olw’obutakulembeza Nsimbi ng’akola emirimugye era nti obuweerezabwe bubadde bwa Mbala.
Omukolo guno gwetabiddwako ababaka ba parliament abenjawulo abeebazizza Sseruwooza olw’okutuusa eddoboozi lyabwe eri banna Uganda awatali kukyusa kyusa mu bye boogedde.
Ku lw’ekibiina ekitaba banna Mawulire ki UJA Isa Kigongo atenderezza omugenzi olw’enkolagana ennungi gy’abadde nayo ne banna mawulire banne bwatyo kwekusaba abasigaddewo okumuyigirako.
Akulira banna Mawulire abagasakira ku parliament Sam Ibanda Mugabi ayogedde ku Sseruwooza ng’omuntu abadde ow’empisa era omulwanirizi w’eddembe lya banna Mawulire Kayingo.
Nnamwandu wa Sseruwooza nga ye Ninsiima Doreen atenderezza bba olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwa taata mu Maka, era mu ngeri yeemu neyeebaza bonna abababeereddewo mu Kaseera ak’okusoomooza.
Sseruwooza alese Nnamwandu n’abaana babiri ab’obuwala.
Maama wa Sseruwooza yazaala omwana omu yekka era nga mu kaseera kano tamanyi Ky’akuzaako kubanga omugenzi y’abadde amulabirira.
Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus











