Okwawukanako n’okulonda kwa bonna okwaliwo mu January,2026 mu kulonda president n’ababaka ba parliament obuuma obusiinga webwagaana okukola, mu kulondebwa okuzzeeko embeera egenda ekyuka, era ne Kikuube bwebukozesebwa.
Obuuma buno buyambyeko okwanguya okukebera abantu mu nkalala z’abalonzi, ng’abamu bategeezezza nti kibayambye okulonda mu budde ate nebagenda okukola emirimu emirala.
.Amyuka omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Paul Bukenya ategezezza CBS nti okutwaliza awamu enteekateeka zitambula bulungi.











