MunnaNRM Paddy Kisembo alangiriddwa ku kifo kya ssentebe wa district ye Kikuube, mu kalulu akakubiddwa nga 18 June, 2026 akabadde ak’okuddamu okulonda ssentebe wa district eno.
KIsembo awangudde n’obululu 26,612 ate munnaNUP Timanyire Fenekansi afunye 8712.
Akulira eby’okulonda e Kikuube Twine Emmanuel yaalabgiridde Kisembo Paddy ku buwanguzi buno
Kisembo Paddy azze mu bigere by’eyali ssentebe Peter Banura Kyaligonza ,eyafiira mu kabenje nga 4 April,2026.
Akakiiko k’ebyokulonda kaalaga nti abantu abewandiisa okwetaba mu kulonda kuno bali 153,186 nga ku bano abakyala baliko 76,657, sso nga abasajja 77,529 nga bakondera mu bifo 330 okwetoloola district eno.
Twine agambye nti obululu obukubiddwa omugatte bubadde 36,211 obulamu bubadde 35,324 bwokka, 887 bubadde tebutegeerekeka, so nga 74 bwafudde.#