Kooti enkulu ebadde etuula e Ggaba esingisizza Christopher Okello Onyum emisango 4 egy’okutta abaana 4 abaali bakuumirwa mu kifo ky’amabuggye ekya Ggaba Early Childhood Development centre nga 02 April,2026.
Omulamuzi agambye nti obujulizi obwaleeteddwa bulaga lwatu nti abaana bano Okello yabatta mu ngeri yakubasaddaaka, ng’agenderera okufuna eby’obugagga, wadde ye omuwawaabirwa yabyegaana ng’agamba nti yatta mu butanwa olw’ekintu kyagamba nti kyamwambala nekimuggyako okutegeerakwe.
Omulamuzi Alice Komuhangi Khaukha yaamutyemulidde ekibonerezo ky’a kalabba ku misango ena egy’okutta amabuggye ng’agassaaddaaka.
Alabudde n’abantu abalala ababadde bakolagana ne Okello, abantu bonna abassadaaka abaana n’abantu abalala olw’okufuna obugagga, nti embuga z’amateeka zakubalamula mu ngeri yeemu.
”I here by sentence you Christopher Okello Onyum to suffer death in a manner authorised by law , for the murder of Ignatius Seruyange, Keisha Ageneroth, Gideon Eteku ne Ryan Odeke. And Mr.Okello you have a right to appeal this conviction in 14 days from now’
Omulamuzi nga tanasalirwa kibonerezo omulamuzi Khaukha amuwadde omukisa emirundi ebiri abeeko kyayogera eri abazadde b’abaana abaattibwa abeetondere, wabula emirundi gyombo Okello agaanye okwemenya, agaaanye okubaako kyayogera wadde okwetonda.
Bannamateeka be abaamuweebwa government okumuwolereza abakulembeddwamu Richard Kumbuga, basoose kusaba omulamuzi nti Okello aweebwe ekibonerezo ekisaamusaamu nti kubanga gwegwabadde omulundi gwe ogusoose okuzza emaisango.
Wabula Omuwaabi wa government Jonathan Muwaganya asabye omulamuzi nti Okello awebwe ekibonerezo ekisiinga obunene nti kubanga ye ng’omuntu wabulabe nnyo eri eggwanga, kiwe naabantu abalala eky’okuyigga abasusse okwenyigira mu ttemu ery’enjawulo.
Omulamuzi mu nsala ye agambye nti obujulizi bwonna obuleeteddwa neenneyisa ye mu kooti, eyolese lwatu nti Okello emisango yagyizza mu bugenderevu era nga yamala ekiseera ng’agyeteekerateekera.








