Obwakabaka bwa Buganda busanyufu eri emirimu egikolebwa Abatongole, nga be baami ba Ssaabasajja Kabaka abasookerwako mu bitundu nti bankizo nnyo eri enkulaakulana ya Buganda.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye Abatongole bonna mu Bwakabaka, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo, naabategeeza nti abatongole gwe Musingi Buganda kweyiniridde mu buweereza obutuuka obutereevu ku bantu ba Kabaka.
Agambye nti Obukulembeze bw’Obwakabaka ku bbo kwebutandikira.
Katikkiro asabye Obuganda bumanye nti Omutongole wa nkizo nnyo eri Obwakabaka bwa Buganda, era nabo naabasaba okwefaako n’okweyisa Obulungi mu Bantu, basigale nga kyakulabirako eri abalala.
Katikkiro mu mbeera yeemu asabye Abaami Abatongole Nabo Okumanya amaanyi gaabwe nga beewa ekitiibwa, n’Okwewala ebikolwa ebiswaza Obwakabaka nabo ng’Abantu.
Minister wa gavumenti ez’ebitundu Owek Joseph Kawuki, agambye nti ensisinkano eno egendereddwamu okumanya Abaami ba Kabaka ku mutendera ogusookerwako ku byalo mu bukulembeze bw’Obwakabaka.
Ensisinkano eno yetabiddwako Abalezi b’Amasaza ag’enjawulo.
Abatongole baawuddwamu emiteeko egy’enjawulo omuli ogw’abaasinga okukuηaanya oluwalo, abakulembera ebyalo ebirimu ebintu bya Buganda eby’enkizo, abatongole abakyali abavubuka n’emiteeki emirala.
Bisakiddwa: Kato Denis








