Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obusaasira ab’ennyumba ya Karundi Sserumaga e Kaliisizo Kyotera, olw’okufiirwa mukadde waabwe Delphine Zinunula Bagenda Karundi Serumaga.
Omulangira David Kintu Wasajja yeyetisse obubaka bw’Omutanda, mu kuziika e KaliIsizo.

Beene ayogedde ku mugenzi Delphine Zinunula nti yali musaale nnyo mu kukweka Omulangira David Wassajja mu biseera bya kazzigizigi eyaliwo mu Buganda.

Ssaabasajja w’asinzidde okwebaza ab’ennyumba eno wamu n’omugenzi olw’ekikolwa eky’ekisa ekyo ekyayolesebwa ate n’okwagala ennyo Obwakabaka bwa Buganda.










