Enkalu zeyongedde ku nteekateeka ya governemnt ey’okulonda abakulembeze b’obukiiko bwa LC, oluvanyuma lwólukiiko lwa ba minister okugaana okuyisa embalirira ey’obuwumbi 56 obwabadde busabiddwa akakiiko k’ebyokulonda okutegeka okulonda kuno.
Minister avunanyizibwa ku nsonga za government ezébitundu, Rapheal Magyezi gyevubuddeko yategeeza nti okulonda kwo bukiiko bwa LC kwalina kubeerayo nga omukulembeze we ggwanga Yoweri Museveni tanalayira mu kisanja ekijja ekiddako ekya 2026-2031.
Wabula nookutuusa kati enteekateeka zo kulonda obukiiko bwa LC tezinalambikibwa buluungi wadde ebbulayo nnaku ntono omukulembeze we ggwanga alayire.
Ensonda zitegezzezza nti mu lukiiko lwa cabinet olwa tudde ku monday eyise, omukulembeze we ggwanga nga yeyalukuubirizza, yagaanye okuyisa ssente ezasabiddwa akakiiko ke byokulonda nga agamba nti nnyingi okusinzira ku nteekateeka y’o kulonda kuno esuubirwa okubeera nga abantu basimba mu mugongo.
Ensonda zigamba nti embalirira eno yabadde eyanjuddwa Minister avunanyizibwa ku government ezébitundu, Rapheal Magyezi.
Oluvanyuma Minister Magyezi yasabidwa okuddamu okwetegereeza enteekateeka eno alyoke addemu okujanjulira olukiiko lwa cabinet ku monday ejja nga 27 April,2026, ng’amaze okuggyamu ebimu kwebyo ebyabadde bijjirinyisizza.
Okusinzira ku omu ku ba minister eyabadde mu lutuula luno naye nga agaanye okumwatuukiriza erinnya, mu mbalirira ya Minister Magyezi, akakiiko ke byokulonda kabaddi kagala g’overnment ate eddemu okugula emmotooka ezinakozesebwa mu kulonda kuno, naye kino president nakigaana nga agamba nti kalina okukozesa emmotooka ezakozesebwa mu kulonda okuwedde okwa 2026 okwalimu okulonda president, ababaka ba parliament nábakulembeze abalala okwatandika ngfa 15 January,2026.
Oluvanyuma lwa cabinet okuddamu okwetegereeza enteekateeka ya kakiiko ke byokulonda ku kulonda kwóbukiiko bwa LC, government esuubira okwanjula enyongereza y’embalirira y’ebyensimbi eri Parliament okusobola okufuna ssente zino.
Minister avunanyizibwa ku government ez’ebitundu, Rapheal Magyezi ategezzezza CBS nti kituufu wakyaliwo byazzemu okwetegereza mu nteekateeka y’okulonda obukiiko bw’ebyalo, naye ng’alina esuubi nti okulonda kwakubeerayo mu bwangu ng’ekisanja kyo bukiiko buno tekinaggwako mu mwezi gwo mukaaga omwaka guno.
Bisakiddwa: Ssekajjiijja Augustus












