Bannabyamisinde aba Kampala Hash Harriers batolontose emisinde gyabwe egibeerawo buli mwaka, ng’emu ku nteekateeka z’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Emisinde gino egiddukiddwa nga 20 April,2026 gisimbuddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Katikkiro asabye abantu mu Buganda bonna okwenyigira mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya mu ngeri y’Olutentezi, nga beewala byonna ebimuviirako okusasaana.
Yebazizza bonna abajjumbidde akalombooombo k’okukomekkereza emisinde gy’Amazaalibwa g’Omutanda buli mwaka.

Katikkiro mungeri eyenjawulo ajjukizza Abasajja okuba abasaale mu kulwanyisa siriimu, nga bakimanyi bulungi nti bwebatakikola Uganda Terina lugendo, kyokka naasaba Abakyala obuteeyisa mu ngeri eviirako Mukenenya kusasaana.

Emisinde gino gyafuulibwa akalombolombo mu kujaguza Amazaalibwa ga Ssaabasajja, era egya leero gikulembeddwaamu Omulangira David Kintu Wassajja.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe











