Government ya Uganda yakusasula government ya Democratic Republic of Congo ensimbi endala eziwera obuwumbi bwa shs 327 mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja 2026/2027 , nga zino ttunduttundu ku nsimbi eziwera trillion 1 n’obuwumbi 400, Uganda zeerina okusasula DRC olw’ebyobugagga byayo abanene mu magye byebabbayo mu myaka gya 1999 ne 2000.
Kkooti y’ensi yonna eya International court of Justices emyaka 4 egiyise yasingisa Uganda omusango, olw’abanene mu magye gaayo okubba eby’obugagga bya DRC mu lutalo olwaliyo mu myaka gya 1999 ne 2000.
Kkooti eyo yalagira Uganda okuliyirira DRC ensimbi eziwera trillion 1 n’obuwumbi 400.
Government ya Uganda yakkiriza okuzisasula mu bitunduttundu era emyaka 3 egiyise, eze eziteeka mu mbalirira y’eggwanga
Omwaka gw’ebyensimbi guno ogugenda mu maaso 2025/2026, obuwumbi 287 bwebwassibwa mu mbalirira okuliyirira DRC, songa mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja 2026/2027, obuwumbi 327 zeziteereddwamu.
Ensimbi zino ziri mu alipoota y’akakiiko ka parliament akalondoola eby’ensimbi n’enkulakulana y’eggwanga akakulemberwa Amos Kankunda, omubaka akiikirira Rwampara, akali mu kwekenneenya embalirira y’eggwanga eya 2026/2027.
Ensimbi zino obuwumbi 327 government zegenda okuliyirira DRC mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja 2026/2027, ziri ku trillion 33 n’obuwumbi 600 ez’okusasula amabanja agabanjibwa Uganda.
Ensimbi ezaatereddwa mu nsawo ekola ku mabanja g’eggwanga eya Treasury operations, nazo zaalinye okuva ku trillion 27 n’obuwumbi 807 ezaateekebwa mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogugenda mu maaso 2025/2026, okutuuka ku trillion 33 n’obuwumbi 600 ezisisiddwa mu mwaka gw’ebyensimbi 2026/2027.
Trillion zino 33 nobuwumbi 600 ezigenda okusasula amabanja g’eggwanga, kuliko ezigenda okusasula amagoba ku mabanja, ezigenda okusasula ku mabanja gennyini, ezigenda okukola ku bigwa bitalaze (contingent fund) obuwumbi 361, ensimbi ezigenda okuddukanya amabanja agaba gewolebwa okuli legal fees, insurance fees, agent fees nebirala
Ebyo nga biri bityo, alipoota eraga nti gavument mu mwaka gwebyensimbi 2026/2027 ensimbi zeegenda okwewola munda mu ggwanga mu bitongole okuli bank zakuno, ba money lenders nebirala, zigenda kweyongera okuva ku trillion 11 n’obuwumbi 381 okudda ku trillion 13 n’obuwumbi 257, nga kino kikontana n’obweyamo government bwezze ewa nti yakukendeeza ku kwewola munda mu ggwanga, okugyawo enkola y’okuvuganya ne bannansi mu katale k’okwewola mu bank zezimu.
Embalirira y’eggwanga eyomwaka gwebyensimbi 2026/2027 government yagirinyisizza, okuva ku trillion 72 ey’omwaka gw’ebyensimbi guno 2025/2026 okutuuka ku trillion 84.
Ku trillion 84 governemnt eteekateeka okukuηaanya omusolo gwa trillion 44 okuwanirira embalirira eno, trillion 1 n’obuwumbi 400 zakuva mu mafuta g’eggwanga, songa endala ezisigalawo ezisoba mu trillion 3, government egenda kuzeewola.
Akakiiko ka parliament akavunaanyizibwa ku mbalirira y’eggwanga kakyagyekenneenya era esuubirwa okuyisibwa wiiki ejja.












