Ekibiina ekigatta abasuubuzi ki KACITA nga kiri wamu n’ebibiina ebirala okuli SEATINI Uganda batabukidde mu kakiiko ka parliamenti akavunaanyizibwa ku by’ensimbi,nga bawakanya ejimu ku misolo ejigerekeddwa ku by’amaguzi ebyenjawulo mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2026-2027.
Babadde balabiseeko mu kakiiko kano okuwa endowooza zabwe ku misolo emipya egyaleeteddwa government gyebagamba nti jizze kunyigiriza bannauganda bamufuna mpola.
Ekibiina ekivunanyizibwa ku basuubuzi ki Kaciita Uganda nga kikulembeddwamu Ssentebe wakyo Issa Ssekito ne Kitengo Aloysius okuva mu SEATINI Uganda, bategezeza Ababaka okwongeza emisolo ku mivumba, amafuta n’ebirara, ate government yeemu nesonyiwa ekkolero ly’amasanyalaze erya Bujagaali omusolo okumala emyaka 7, kabonero akalaga kyekubiira n’okwongera okunyigiriza omuntu wa bulijjo.
Ate ye John Walugembe nga yakulira banamakolero abatandikawo bu business obutonotono mu Uganda ne Moses Ategeka akulira ekibiina ekigatta kampuni ezikola ebintu ebyenjawulo okuva mu pulasitiika n’obuveera, bagamba nti emisolo gino emipya gyakugoba abantu abenjawulo mu mirimu gyabwe, bwebatyo nebawa government amagezzi obutagiteekesa mu nkola.
Wano Ababaka abatuula kukakiiko kano okuli omubaka wa Otuke county Paul Omala bagamba bakwekenenya ensonga z’emisolo gino n’oluvanyuma baveeyo ne alipoota ey’omuziinzi.
Bisakiddwa: Nabagereka Edith













