Libadde ssanyu jjereere ku eklesia ya Nicholas e Namungoona, Obuganda gyebukuηaanidde okujaguza n’okwebaza Katonda, olw’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Magulunnyondo Ronald Muwenda Mutebi II age 71.
Okusaba kukulembeddwamu Ssabasumba Jeronymos Muzeeyi, ate okubuulira kukulembeddwamu Bishop Silvester Kisitu, ng’omugenyi omukulu abadde Nnaabagereka Sylivia Nagginda.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Ssaabasajja Kabaka okunyweza Obumu n’Okwewala enjawukana, libeere ekkubo lya Buganda Okudda ku Ntikko.
Katikkiro akinogaanyizza nti enkulaakulana ya Buganda eri ku musingi ogw’Obumu, obutandikira ddala mu Bika, nga n’olwekyo abantu ba Buganda tebalina kuganya muntu yenna abaawulamu.

Katikkiro ku lw’Obwakabaka ayozaayozezza Ssaabasajja okutuuka ku kkula ly’Amazaalibwa g’Emyaka 71, naamwebaza olwokuluηamya Obulungi Obuganda.
Katikkiro era yebazizza Obuganda bwonna olw’okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka.
”Neebaza Obuganda bwonna kubanga bwe tubukowoola butwanukula” – Katikkiro Mayiga

Abalangira n’abambejja bazze mu bungi, okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Ssaabasajja Kabaka

Ssabasumba wa Eklesia Orthodox, Yinonimus Mzee aloopedde Ssaabasajja Kabaka ng’enzikiriza yabwe bwesosolwa, olwemigabo emitono gyebalina mu buweereza obwenjawulo mu government eyawakati.
Omulabirizi Silvester Kisitu atwala ekitundu kye Jinja nga yabuulidde , yebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’Obuwagizi eri Eklesia, okutumbula enkulaakulana mu Bantu be n’Obulamu Obulungi, era asabye abantu ba Kabaka obutabala myaka gya Ssemunywa gyokka, wabula okulaba ebikoleddwa era ebituukiddwako eby’ensonga.
Agambye nti emyaka gya Kabaka tetubala mibale, wabula ebyo eby’obugagga eby’ensibo Katonda byamusobozesezza okukolera abantu be, omuli Okwagala, emirembe n’obumu abituwa esuubi ng’abantube.

Minister omubeezi owebyenjigiriza ebya waggulu Owek JC Muyingo nga yakiikiridde president Museveni, aleese ettu lya Bukadde bwa shs 20 ,nateegeeza nti kirabo Kya president Museveni eri Ssaabasajja Kabaka.

Omukolo guno amakula gwetabiddwako bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo omuli Ssaabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Dr.Stephen Kazimba Mugalu, ssentebe w’abepisikoopi Anthony Zziwa, Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssimogerere,Supreme Mufti Muhammad Ggalabuzi n’abalala.

Ba Katikkiro abaawummula, Abalangira n’Abambejja, ba Nnaalinnya, bajjajjanabataka abakulu boobusolya, ba minister ba Kabaka, ababaka mu parliament, ba ssenkulu b’Ebitongole by’Obwakabaka nabalala bangi.#

Abaana b’amasomero babaddewo mu bungi era nga basanyusizza n’abantu ba Ssaabasajja Kabaka.

Nnaabagereka Sylivia Nagginda asimbye omuti ogw’ekijjukizo ku eklesia ya St. Nicholas e Namuηηoona, n’asala ne keeki y’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II age 71.












