President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, akkirizza ensimbi obuwumbi 905 zongerwe munteekateeka z’eggwanga ez’okutegrka empaka z’ekikopo ky’omupiira ogw’ebigere eza AFCON 2027.
Dr. Dennis Mugimba ssentebe w’olukiiko oluteekateeka empaka zino, yakakasizza ensimbi zino mu lukuηaana lwa bannamawulire olubadde ku Media Centre mu Kampala.
Dr Dennis Mugimba agambye nti balina essuubi ery’okufuna abagenyi abali wakati w’emitwalo 50 ne 65, nga singa buli mugenyi anasasaanya wakiri olukumi lwa doola, Uganda ejja kusigaza kuno obukadde 500 obwa doola.
Kunsimbi obuwumbi 905 President Museveni zayisizza, obuwumbi 101 n’obukadde 100, bugenda mu wooteeri okuzimbibwa n’okuziddaabiriza, era zino zigenda kuyita mu Uganda Development Bank.
Obuwumbi 213 n’obukadde 760, za kukola ku buwanvu bw’enguudo eziweza kilo mita 47.53 mu bitundu ebye njawulo ewagenda okubeera empaka zino.
Obuwumbi 183 n’obukadde 900 za kukola ku kisaawe kya Kabaleega International Airport okutandika okusaabaza abantu okusukka ku migugu nga bwekibadde.
Obuwumbi 17 n’obukadde 700 zigenda eri mu FUFA okuddabiriza ekisaawe kya Kadiba e Mengo, okutukana n’omutindo ogugenda okutendekerwamu ttiimu ezenjauwlo ezigenda okujja kuno, ate n’okuteekateeka Uganda Cranes ebeere ya mutindo ddala.
Olukiiko oluteekateeka empaka zino, lugenda kukozesa ensimbi obuwumbi 109 n’obukadde 900 okutambuza emirimu egyenjawulo.
Ekisaawe kye Namboole, bakyongedde obuwumbi 56 n’obukadde 200, olwo ewamu Namboole egenda kuba asasanyizidwako obuwumbi 248 n’obukadde 600.
Internet mu bifo byonna ebikwatibwako enteekateeka za AFCON, bagenda kugisasaanyako obuwumbi 6 n’obukadde 440 n’ebirala.
Kinajjukirwa mu 2024 Uganda yasooka n’eyisa ensimbi 1.35 trillion munteekateeka eza CHAN 2024 ne AFCON 2027, era ku zino kwaliko n’okusasula omutemwa gwa CAF ogw’okutegeka empaka zombiriri obukadde bwa doola 13 n’obukadde bwa doola 30, n’ebirala.
Uganda egenda kutegeka empaka za AFCON 2027 ng’eri wamu ne Kenya ne Tanzania.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













