Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naaweereza abantu be obubaka bw’Amazuukira ga Yesu Kristu obwa 2026.
Beene asabye olunaku luno lujjukize buli muntu omukwano n’obusaasizi Katonda by’alina eri abantu be. Asabye buli omu okujjukira obuvunaanyizibwa bwe mu maka, ebitongole bya Government n’Ebyokwerinda okukola ebiyamba abantu.
Kalemakansingyo yennyamidde olw’abantu okuba nga bawa omusolo, wabula obuweereza obubatuusibwako nebuba bwa kkekwa, naddala mu malwaliro nemutaba ddagala n’ebikozesebwa ebirala, emmotoka ezitambuza abalwadde abayi okubeera entono naddala mu byalo, nga n’ewamu teziriiyo, ewalala zaafa.
Ebyuma ebyagulibwa kyokka nga tebikozesebwa, amasanyalaze agavaako entakera, bino byonna byongera okulinnyisa omuuwendo gw’abantu abafiirwa obulamu.
Ssaabasajja agamba nti enteekateeka y’ebibuga ebitegekeddwa obulungi nnungi, kyokka empuliziganya wakati wa bannansi n’abakola ku mateeka esaana okuba ennambulukufu, era ngetegekeddwa bulungi.
Nnyininsi agambye nti entegeka y’ebibuga esaanye emanyisibwe abantu nga bukyali, abavunaanyizibwako baleme kubalinda kusooka kuzimba ate byebazimbye nebimenyebwa oluvannyuma.
Masomooji awadde amagezi ku ntegeka y’Ebibuga ennungamu okwetoloola eggwanga esaanye okugobererwa, nga tereka maziga ku mitima gy’abantu.
“Obuweereza abantu baffe bwe balimu busaana bukozesebwe bulungi ate mu bwenkanya kisobozese abantu baffe okweyagalira mu nsi yaabwe” – Ssaabasajja Kabaka Mutebi II.














