President w’ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF, Dr. Patrice Motsepe akinogaanyizza nti Senegal yagenze okugibwako ekikopo kya Africa Cup of Nations eky’omwaka oguwedde 2025 e Morocco, nga baamala dda okugiwa ensimbi ez’omuwanguzi obukadde bwa doola ya America 10, nga kwotadde n’ekikopo.
Dr. Patrice Motsepe bino abikakasizza mu lukiiko lwa bannamawulire lwatuuzizza ku kitebe kya CAF mu kibuga Cairo ekya Misiri.
Ategeezezza nti eby’okusalawo oba nga Senegal bakomyawo ensimbi zino n’ekikopo bakubyogerako nga bamaze okuwulira ebiva mu kakiiko akatawulula enkayana mu byemizannyo munsi yonna aka The Court of Arbitration for Sports, Senegal gye yaddukira.
Mu mpaka za Africa Cup of Nations ezaali e Morocco, Senegal yawangula ekikopo ng!ekuba abategesi aba Morocco goolo 1-0, wabula oluvanyuma nga wayise emyezi 2, CAF yagigyeko ekikopo kino.
CAF egamba nti Senegal yayiwa omupiira guno okumala eddakiika 17 nga balumiriza ennamula embi eyalabikira mu mupiira guno, ekintu CAF kyeyategeeza nti Senegal yayiwa omupiira guno, era obuwanguzi yabuwa Morocco bwa goolo 3-0.
Dr Patrice Motsepe agambye nti mu kiseera kino ng’ekibiina balinze ebiva mu Court of Arbitration for Sports Senegal gyeyaddukidde, okusalawo ekiddako.
Senegal yayanjulidde abawagizi baayo ekikopo kino mu kisaawe kya Stade de France, mu mupiira ogw’omukwano mweyakubidde Peru goolo 2-0.
Senegal era yatongoza n’omujoozi omupya oguliko emunyenye 2, ezikakasa nti yakawangula empaka za Africa Cup of Nations emirundi 2 mu 2021 ne 2025.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












