Ababaka abaakalondebwa okukiika mu parliament eye 12 abeesimbawo ku lwabwe bwannamunigina abawerera ddala 30, basse omukago ne NRM nebasuubira okugiwagira mu biteeso ebireetebwa mu parliament.
Baaniriziddwa ku kitebe kya NRM ku Kyaddondo Road mu Kampala, era gyebateeredde emikono ku kiwandiiko ky’omukago.
Baaniriziddwa sipiika wa Parliment Annet Annita Among, era nga mumyuka owokubiri owa ssentebe wa NRM.
Ababaka ba Parliament eye 12 baalondebwa mu kalulu akaaliwo nga 15 January,2026, era nga kati balinze kulayiza mu May 2026.











