Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kikalize baddifiri abawerako ku byekuusa ku nnamula embi ey’omupiira.m mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League.
Baddifiri 6 abalamula omupiira wakati wa Buhimba United nga ettunka ne Police, bakaligiddwa ebbanga lya myezi 3, nga bano ye Musisi Henry, Kinyera Fred, Mbabali Samuel, Ssemakula John, Kugonza Ssemu Christopher ne Hillary Geoffrey Kimbugwe.
Kitegerekese nti ku nnamula embi ey’omupiira, baddifiri bano baagattako n’obutafaayo ku byali bigenda mu maaso mu mupiira guno, nebatuuka okuleka omuzannyi wa Buhimba United Eric Nyonyintono okuzannyira mu mujoozi ogwawukana ne bazannyi banne.
Mungeri yeemu FUFA eyimiriza omuwuubi w’ekitambala Immaculate Ongiera ebbanga lya myezi 3, ng’ono avunanibwa okutta goolo ya Hassan Mubiru owa Villa Jogo, nga mu mupiira guno Villa Jogo yali ettunka ne Express mukwano gwabangi.
Mungeri yeemu FUFA eyimiriza ddifiri Emmanuel Okudra ebbanga lya myezi 3 olw’okutta eyandibadde goolo ya Villa Jogo Ssalongo, nga mu mupiira guno Villa Jogo Ssalongo yali eyambalagana ne Police FC.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












