Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF kirangiridde nti Morocco be bannantameggwa b’empaka eza Africa Cup of Nations 2025.
Bino bisalidwawo akakiiko akajulirwamu emisango aka CAF, olwo ekikopo nekiggyibwa ku Senegal eyakiwangula ku kisaawe ne bakiwa aba Morocco bwebaazannya ez’akamalirizo era abaali abategesi.
CAF egambye nti Senegal yayiwa omupiira gwa fayinolo bweyekandagga neeva mu kisaawe, nga n’olwekyo obuwangu babuwadde ne Morocco ne ggoolo 3-0.
Kinnajjukirwa nti Senegal okuwangula ekikopo kino yali ekubye Morocco ggoolo 1-0, wabula mu mupiira guno abazannyi ba Senegal baava mu mbeera ne bava mu kisaawe nga bawakanya peneti eyali eweereddwa Morocco.
Oluvanyuma lw’akaseera baakomawo mu kisaawe era Morocco neremwa okuteeba peneti yaayo, ate Senegal neteeba ggoolo eyagiwanguza ekikopo.
Guno gwe mulundi ogusookedde ddala kino okubeerawo mu mpaka zino, omuwanguzi okulangirirwa mu office ng’empaka zaggwa dda.
Wabula abazannyi ba Senegal bangi nga bakulembeddwamu Sadio Mane, batadde obubaka ku mitimbagano nga bakakasa nti ensi emanyi omuwanguzi omutuufu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












