Nnabagereka Sylvia Naginda asabye abakyala okwettanira enkola eya Tekinologiya mu by’obusuubuzi baleme okulekebwa emabega mu bye nkulakulana.
Nabagereka abadde ku mukolo gwa Bakyala mu Buganda oguyindidde mu Ssaza Mawokota gombolola Musale Buwama ku Kisaawe Buwama.
Gutambulidde ku mulamwa ogugamba nti okusobozesa abakyala okukulemberamu enkyukakyuka mu by’obusuubuzi ebyobulamu n’obutondebwensi.
Mu ngeri yeemu Nnabagereka ajjukiza abakyala buligyo okuyaayaniranga okusoma n’okumanya ku nsonga ez’enjawulo ensi kwetaambulira.
Minister w’Obulungibwensi, Amazzi n’eKikula by’abantu mu Buganda Oeek Hajat Mariam Mayanja Nkalubo agambye nti abakyala kati tebakyetya olw’okulambikibwa obulungi era nga kati basobola okukulemberamu enkyukakyuka mu byenkulakulana.
Ku lwa government eya wakati, Omuteesiteesi omukulu mu maka ga President Jane Balekye mu bubaka bwatisse Joseph Mukasa Sewava yebaziza nnyo Nnabagereka olw’omulimu gw’ekisaakaate n’enkulakulana gyatadde mu bakyala ba Buganda era nawera nti betegefu okutambulira wamu naye okwongera okusitula abakyala.
Nnaabagereka mu kusooka alambudde amaka ga Owek.Fred Masagazi Masaazi, er aye n’omukyala balambuzza Nnaabagereka polojekiti yabwe ey’okulunda enkoko ewadde abavubuka emirimu mu kitundu kino, nga kwotadde n’okuyingiza ensimbi okuva mu kulima emmwanyi.
Bwavudde eyo, Nnaabagereka alambudde emirimu gy’Amaka amalungi akaalo amatendo ew’Omukyala Nantume Josephine n’Omwami Vincent Ssemanda mu muluka Mbizzinnya.
Ab’amaka gano bongera omutindo ku birime, balunda enjuki, balembeka amazzi gebawa ebisolo n’okufukirira ebirime.
Nnaabagereka era alambudde ekyalo Katikanyonyi ewalai amaka ga Namwandu Zainabu Nakijoba Ssabiiti, omulunzi w’enkoko, akola eddagala ly’obutonde, mulimi era ng’alembeka amazzi gaawa ebisolo n’okufukirira ebirime.
Mukyala Nantume Josephine ne Zainabu Nakijoba Ssabiiti, babuulidde Nnaabagereka nti basobodde okweyimirizaawo nga bayita mu mirimu egyo gyebakola.
Mu kulambula kuno Nnaabagereka awerekeddwako, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, Omutaka Nsamba Aloysious Lubega Magandaazi, akuuma entebe ya Kayima, Hajji Kasujja Kagga Hassan, omukulembeze w’Abakyala e Mawokota Juliet Namanda Ssennyomo, bannaddiini n’abakulembeze ku mitendera egitali gimu.
Bisakiddwa: Nakato Janefer