Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye, emikolo gy’okujaguza amazaalibwe ge ag’emyaka 71 gitegekebwe ku Eklesia y’Abasoddookisi e Namuηηoona.
Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof Twaha Kaawaase Kigongo y’alangiridde enteekateeka eno, bwabadde ayanjula n’olukiiko olugenda okuteekateeka emikolo.
Omutanda wakuweza emyaka 71 egy’ekitiibwa nga 13 Kafuumuulampawu omwaka guno 2026.

Owek. Coltilda Nakate Kikomeko ye Ssentebe w’Olukiiko luno, amyukibwa Owek. Israel Kazibwe Kitooke.
Ba memba kuliko Owek Noah Kiyimba, Owek Joseph Kawuki, Owek Richard Sserwanga Ssalongo, Omuk Josephine Nange, Omuk Remmy Kisaakye,Omuk David Ntege, Capt Christopher Lutwama, Omuk.Sylvia Nabyonga.
Abakiise okuva ku ludda lw’ekkanisa y’Abasoddokisi abagenda okukulemberamu okusaba omwaka guno, Ssentebe ye Rev. Dr. Nicholas Ssekamwa Bayego Ddiini wa Lutikko y’e Namuŋŋoona.
Owek. Cotilda Nakate Kikomeko, yeyamye nti bagenda kukola enteekateeka eziggyayo ekitiibwa kya Namulondo.
Katamba Nickolas, ku lwénzikiriza y’Abasoddokisi atenderezza obwakabaka olw’omukisa ogw’okukulemberamu okusabira Kabaka, ng’aweza emyaka 71 egy’ekitiibwa.

Olukiiko olumaze okulangirirwa, nerugenda okulambula lutikko ya St. Nicholas e Namuηηoona n’oluggya lw’ayo, okwongera okufuna ekifaananyi ekituufu ku nteekateeka nga bwezinabeera, omuli obugazi bw’ekifo abantu webanaatuula, entegeka y’okusaba,ewasiimba ebidduka,eby’okwerinda n’ebirala.

Owek Kawaase era akikkaatirizza nti Amazaalibwa ga Ssaabasajja gazze geesigamizibwa ku kutumbula Ebyobulamu, era Empologoma amaanyi mangi geetadde mu by’Obulamu bw’Abantu baayo,bwatyo naasaba Emisinde gy’Amazaalibwa ga Ssaabasajja egiribaawo nga 12.4.2026 mu Lubiri e Mengo gijjumbirwe.
Nnyininsi Maasomooji Ronald Muwenda Mutebi II yazaalibwa nga 13.04.1955.#












