Obwakabaka bwa Buganda busiibuludde abaddu ba Allah abasiraamu, nebusaba obumu n’Enkolagana byongere okunyweera mu Bantu ba Ssaabasajja.
Bwabadde yeetabye mu kusiibulula Abayisiraamu mu Bulange e Mengo,Katikkiro agambye nti wadde abantu ba Kabaka baawukana mu ddiini, tebasaanye kwawukana mu buwulize n’obuweereza eri Namulondo.
Sheikh Yasin Kiweewa yaabadde Omugenyi owenjawulo munmukolo guno, nga yakiikiridde Super supreme Mufti Sheikh Muhammad Ggalabuzi.
Yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka ne gavumenti ye ,olwobutakoowa kulwanirira mwana Muwala, nga bamutangira okufuna Mukenenya, n’okukubiriza abasajja okukemberamu kaweefube ono.
Ssentebe w’Olukiiko oluteseteese okusiibulula Abayisiraamu era nga ye mumyuuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek Hajji Ahmed Lwasa asabye abakulembeze abalonde okukwasizaako Ssaabasajja mu ntekateekaze, ezokukuuma Abantube nga balamu bulungi.
Ali Balunywa ku lwa Airtel Uganda, ategeezezza nti omwaka guno bongedde okunyweeza enkolagana yaabwe n’Amasomero g’Obuyisiraamu ,nga Amasomero 30 gegagenda okuyungibwa ku mitimbagano.
Omukolo guno gwetabiddwaako Abalangira n’Abambejja,ba Nnaalinnya, abakiise mu Lukiiko lwa Buganda,ba minister ba Ssaabasajja , abakulira Ebitongole bya gavumenti, abakulira Amasomero abenjawulo n’Abantu kinoomu.
Bisakiddwa: Kato Denis













