Ekanisa ya Uganda erambise ku kisiibo
Mu ngeri yeemu Ekkanisa ya Uganda, ewabudde abakulisitaayo okukulembeza enkola ey’okusonyiwagana mu kisiibo kino.
Ekkanisa ya Uganda egamba nti eggwanga embeera gyeririmu, yeetaga obumu nókwagalana naddala mukiseera kino ng’eggwanga lyakava mu bisago by’okulonda.
Omulabirizi we Mityana, Ssalongo Rev. Dr. James Bukomeko, awabudde abakkiriza okukozesa ekisiibo kino, okuzza emitima gyabwe eri katonda.
EKisiibo ky’abagoberezi ba Kristu n’eky’Abaddu ba Allah ekya Ramathan kitandikidde ku lunaku lwe lumu, olwa nga 18 February,2026.












