Omudduumizi wa UPDF era mutabani wa president wa Uganda Gen.Muhoozi Kainerugaba alonze Brigadier Gen. Joseph Ssemwanga Musoke okubeera omumyuka w’omuduumizi w’amaggye g’eggwanga ag’okuttaka
Brig General Joseph Ssemwanga Musoke azze mu bigere bya Maj Gen. Francis Takirwa eyafiiridde mu ddwaliro ly’amaggye e Bombo oluvannyuma lw’okulwalira akabanga.
Brigadier General Joseph Ssemwanga Musoke nga tanalondebwa ku kifo kino, omudduumizi w’amaggye g’rggwanga General Mohoozi Kainerugaba asoose kumulinnyisa ddaala ,era namwongera ennyota okuva ku ddala lya Brigadier General okutuuka ku ddala lya Major. General.
Maj General Joseph Ssemwanga Musoke Kati omudduumizi w’amaggye g’eggwanga agokuttaka abadde mudduumizi w’eggye ly’eggwanga erikuuma emirembe mu Somalia, era nga yaliko omudduumizi w’ekibinja ky’amagye ekisooka ekye Kakiri mu district ye Wakiso.
Akolanga omwogezi wa UPDF Col. Chris Magyezi agambye Maj.Gen.Ssemwanga emirimu egimukwasiddwa agitandikiddewo.
Enkyuukakyuuka ezaakolebwa mu nnambika n’entambuza y’emirimu mu ggye ly’eggwanga, omudduumizi w’amaggye g’eggwanga yaweebwa obuyinza okukola enkyuukakyuuka omuli okugoba, okukuza n’okuwa ennyota.
Obuyinza buno bwali mu mikono gy’omukulembeze w’eggwanga era omudduumizi w’amaggye g’eggwanga owookuntikko.#












